Kanyimbe – Juliana Kanyomozi (2008)

About

Album: Kanyimbe
Released: 2008

Lyrics

Amazima ddala nkimanyi nti Mukama omanyiBwentunula gyewanzigya, abalala gyewabalekaOndwanila entalo abalabe zebaleetaKale nebwebayimuka, nga Mukama wooli sityaSi nsonga, wadde nga silina maanyiKuba Mukama atuula mu nze, oli wamanyi sseboSi nsonga, wadde nga silina ssenteKuba gwe Katonda gwensiinza ensi yiyo eno
Kanyimbe, nyimuse elinya lyo YesuMukama, wotoli nze nandibadde ntya?Ne bino byona Mukama ebinumaBitwaale, abalabe bange banzigyeko olukongoolo
Bwentunula amazima ndaba nti awatali gwe MukamaYe nze nandibadde ntya? Enaku nandigizize wa?Nekweeka mu gwe, olwaazi olwaaseMukama mazima oli mwesigwa gw’omanyi ebyangeSaasira obunafu bwange, amaziga ago genkukaabiraKuba mu maaso go kitange ndi mwaana sseboSaasira ebyoonoono byange Mukama bwenkusobyaTohila busungu, tova ku ludda lwange
Kanyimbe, nyimuse elinya lyo YesuMukama, wotoli nze nandibadde ntya?Ne bino byona Mukama ebinumaBitwaale, abalabe bange banzigyeko olukongoolo
Nyamba, nsobole okusonyiwa nange abansobyaYadde byebankola, bimenya omutimaAbali eyo abateesa engeri gyebansuulaMukama maanyi obalaba bakyankalanyeNyamba, nsobole okukozesa ekitone kyompaddeEla nsaba onyambe onzigyemu amalalaNsaba okozese obulamu bwangeNga nkyalina amanyi, onkozese ebinene
Kanyimbe, nyimuse elinya lyo YesuMukama, wotoli nze nandibadde ntya?Ne bino byona Mukama ebinumaBitwaale, abalabe bange banzigyeko olukongoolo
(Visited 35 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

16 − three =

<