Specioza – Bobi Wine (2017)

Lyrics

Dan Magic agambye atya?
Guno gw’akubye sigwembadde noonya
Naye k’ogukubye nze kanguzannyiremu
Sigusuubira kucaaka nnyo
Kubanga guno gwe nkubye
Sigwa mirembe gya kati
Mbatutteko mu giri gi P.O. Box
Nga twalina ebiwala mwattu ebitiba bitya
Nga k’obigendako obubi obeera waakutya
Mbanyumiza omuwala gwe nayagala
Yabeeranga Kamwokya ku Community
Bamuyita Specioza Nantaba
Naye nayagala Spe nze ne nserebera
Bwakya lumu ye n’anjabulira
Ne mwegayirira naye nga tabiwulira
Nga ku maviivi nfukamidde
Ng’olwo ndaba ebyange byonna biwedde, eh
Mu mwoyo nga nzenna nsiridde
Yaƞamba don’t worry eyo just first feeling

Specioza yankyaawa
Naye mu byaddala alinga nga eyannyamba
Singa yali teyankyaawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba
Specioza wankyaawa
Naye muga Katonda mu ggulu gwe wannyamba
Singa wali tewankyaawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba

Naddamu okumulaba
Ng’eyali Spe tosobola kumutegeera
Ne kennyini teyetegeera
Ewa Jjajja Ibu mu Kimombasa eri eri wansi
Gye nasembayo omusanga
Mwana muwala yayiga n’okunywa kabanga
Tuli ne bataayi bange
Tuli mu swagger tunywa na byaffe tuteredde
Yekazizza asembedde
Akutte n’entebe ssebo olwo naye akkalidde
Olwo ndowooza ng’alaba musaana
Ko nze gundi leka tonkuba bikadde
Ne musomera byonna kuva ku bya Jimmy
Wewanjagalira wali otukyanga ne Chagga
Baakumpisangako mu Short Pajero
Nze ne mbonaabona ekiro nga nkaabira pillow
Ne ƞamba nti sikyalya lwa ggwe
N’oƞamba don’t worry eyo just first feeling

Kati nalaba ekkubo
Baali batuufu akugoba y’akulaga ekkubo
Bw’akulekawo gwe fuba kulaba ng’okola
Luliba olwo n’osisinkana asaanira embaga
Gwe manya nti omuntu bwakukyawa oba okalidde
Bwe kaba nga obadde kataala oba ozikidde
Bwakukyaawa n’olemerako oba wefudde na fala
Okwagala okkaka omukwano kikubya yala
Byantuukako luli mu biseera bya ‘aso’
Kyenva mbiyimbako mbabuuse baana ba ssebo
Gw’okaabira ng’amaze okukyaawa
Oyinza okusanga nga gw’abadde alina omukyaawa
N’olwekyo sirika tokaaba
Nze gamba don’t worry eyo just first feeling

(Visited 14 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

four × 2 =

<