Sister – Kalifah AgaNaga (2018)

About

Artist: Kalifah Aganaga
Released: 2018
Album: Kazindaalo

Lyrics

Wire ya ya ya ya
Bakaaba, wire ya ya ya ya
Ggwe, omukyala yenna
Beera mugumiikiriza
Bwotegendereza bakukubye sumagiza

Ennyumba ne ssente
K’ojooga ebintu eby’omulembe
Bakwogerako onyirira
Mbu tova ku mulembe
(Namakula Rema)
Osaana ssaala za Pastor Bugembe
Olumu osula Ntebe eyo
Mbu olumu osula Mubende
Ennaku zino oyimba n’akayimba
Mbu toli muyembe
Oyagala kkulya tolinda bya kwengera gwe
Abakazi balina amaduuka mu Kiyembe
Bagagga naye bambi ba nakyeyombekedde
Kati bafuuka naba sugar mummy
Olumu babafuula bakazi b’ebbali
Naye ggwe onyirira bakuyita muka designer
Bakufera okukuguza ekintu ky’Omuchina

Before you go, eyo sister
Oyige bwe bakwata omusajja
Before you go, eyo sister
Ggwe ojje oyige bwe bakwata omusajja
Before you go, eyo sister
Oyige bwe bakwata omusajja
Before you go, eyo sister
Ggwe ojje oyige bwe bakwata omusajja

Goberera ekkubo story za Zuena
Ba Barbie abo ba Daniella
Namakula Rema laavu kyama kya babiri
Mu maka kireeta ensimbi okuwera
Olugambo bulwadde bwa cholera
Bo bakugamba omusajja takugyamu
Mbu wafuna na musiraamu
Kale gwe leeta ekitabo
Mwanadamu n’ekkalaamu
Wano nkusomesa ebikyamu
Taata German Karim
Bannange ndeese regime
Kayimba kali ku rhythm
Ggwe, omukyala yenna
Beera mugumiikiriza
Bwotegendereza bakukubye sumagiza

Ggwe, nze ndabayo abataayaaya
Tebalina basajja bakaaba, ah
Wire, wire ya ya ya ya
Bakaaba, wire ya ya ya ya
Ennyumba ne ssente
K’ojooga ebintu eby’omulembe
Bakwogerako onyirira
Mbu tova ku mulembe
(Namakula Rema)
Osaana ssaala za Pastor Bugembe
Olumu osula Ntebe eyo
Mbu olumu osula Mubende
Ennaku zino oyimba n’akayimba
Mbu toli muyembe
Oyagala kkulya tolinda bya kwengera
Abakazi balina amaduuka mu Kiyembe
Bagagga naye bambi ba nakyeyombekedde
Kati bafuuka naba sugar mummy
Olumu babafuula bakazi b’ebbali
Naye ggwe onyirira bakuyita muka designer
Bakufera okukuguza ekintu ky’Omuchina

(Visited 55 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

seven + 2 =

<