Matyansi Butyampa – Bobi Wine Ft. Nubian Li (2011)

Lyrics

[Intro]
Happiness is a true reward of hard work
But what about me who don’t work hard but work smart
I call it niceness
Haha ha ha ha

[Verse 1]
Baliwa abandaba? nga nvimba mu kkubo nebampita omulalu
Abalala nebansomera
Nti nvimba lwa buno obuswazi bwenafuna
kyokka ensi yansobera
bwobeera owakabi emboozi gyofuuka
Olaba nekitabanyi kya gundi kyansomera
Luli nti essada lye ddogo lyo
kati gundi zingako ebigambo byo sikyaalina
Biseera bya baffala
Nze kandye olubimbo abaffa bapapa
Gwekiruma yettugire ku munyaanya
Oba bwoba okola ezizzo zirye zinywe
Tewerumya obulamu bwakiseera
Nze byempiisemu bingi Mungu yebale
Era kati nesulira ku mazzi nempowa

[Chorus]
Kanzirye nzinywe aloga aloge nze mukama yampa (mukama Yampa )
Muntuuyo zange mwe najja emirembe gyange
Kanzirye nzinywe aloga aloge nze mukama Yampa
Muntuuyo zange mwe najja emirembe gyange
(kaddemu ako)
Kanzirye nzinywe aloga aloge nze mukama Yampa
Muntuuyo zange mwe najja emirembe gyange

[Verse 2]
Waliwo nabatakiriza nga naye emitima gyabwe gyo gyakiriza dda nyo
Wano byenyimba babizalawa
Nga naye beggalira nebabiwuliriza mu kisenge
Abamu tebanjagala era tebamatira kuba nze nnina kyebanoonya
Ekirooto kyabwe muntandiikwa Kyaali kyakutambula ekyange kya kubuuka
Kyova olaba Bali good naye nze ndi better
Yenze Bobi Wine Kabaka we swagga
Oba mu afro beat oba mu ragga
Tubakuba miziki bagiyita njaga
Tukubye ragga
Nebakuba ragga
Naye kati kiki kyebalaga mu ragga
Wulira kano
Ensowera nenjuki byombi biwuka era byombi bibuukira mu kabuyonjo
Enjuki yejjayo omubisi ate ensowera nesombayo kazambi
Ate no wewuunye tegabeera maanyi gaffe gabeera
Maanyi ga Mukama Katonda
Kyobadde onoonya nokikwaata olwo abateesi nebakiika
Bwaggulawo enzigi aggula namadirisa
Who Jah bless no man curse

[Chorus]
Kanzirye nzinywe aloga aloge nze mukama yampa (mukama Yampa )
Muntuuyo zange mwe najja emirembe gyange
Kanzirye nzinywe aloga aloge nze mukama Yampa
Muntuuyo zange mwe najja emirembe gyange

‘Member the world is looking for a man who has done something
Not a man who can explain why he has done nothing
No evidence, No right to speak
Ha ha ha ha ha

[Verse 3]
Obubaka
Leka twejukanye enva ya Matyansi ne Golooba Bidandi nga bava eKooki
Matyansi Butyampa yalina obubwa bwe bubiri obwaali bumuvaako emabega
Ate Golooba Bidandi ye obubwa nga bwebukulembera mu lugendo
Laba bebatuuka kumutala nebasangayo omusada oli sebba’gulanyi
Awo newabalukawo olutalo era Matyansi ye yaddukayo awenyera
Ate Golooba yatya nyo nokugwa nagwa namagwa negamuyita mubisambi
Ago negamulaga raw negamuyisa bubi era oluusi naye awenyera eh
Ate obubwa bwe obubiri bweyasindika bwebwatuukayo ku mubanda
Nabwo nebuzingira emikira mu magulu gabwo nga boss bamaze omukunya
Mpulira nti bwadda nabwo eyo Kabuwoko kati gyebupangira ensi
Kati boy gendayo obabulire nti Badman ate yabambye luno
Obagambe eyakusinze aba amaze nomuggo akukubisa gugwo gwomenya
Bagambe ebyobwerere byakoma omusajja alya ku ntuuyo ze
Yenze omubanda wa Kabaka owakabi era bwemba nzirya ndya kuzange

[Chorus]
Kanzirye nzinywe aloga aloge nze mukama yampa (mukama Yampa )
Muntuuyo zange mwe najja emirembe gyange
Kanzirye nzinywe aloga aloge nze mukama Yampa
Muntuuyo zange mwe najja emirembe gyange
(kaddemu ako)
Kanzirye nzinywe aloga aloge nze mukama Yampa
Muntuuyo zange mwe najja emirembe gyange

(Visited 77 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

4 − one =

<