Omwana Agenda – Dr. Hilderman (2016)

Koona koona
Nkoonera ku ŋŋoma yaffe eri
(omwana agenda)
Buli ŋŋoma eyo lw’evuga
(agenda)
Buli lw’evuga omanyirawo masanyu gokka
(omwana agenda)
Ayayaya!
Koona koona
(agenda)
Nkoonera ku ŋŋoma yaffe eri
(omwana agenda)
Buli ŋŋoma eyo lw’evuga
(agenda)
Buli lw’evuga omanyirawo masanyu gokka
(omwana agenda)

Oluganda kuyiga
Na kati wulira
Nze we ndigwa waaligwa Bbeene
Kibeera kikyaamu okuwera eri Bbeene
Nti waaligwa w’oligwa naawe
Bbeene ffe tutabaalira
Kabaka teyetabaalira apaana
Yenze Kiyaga muzzukulu wa Gabunga
Dr. Hilder lyo likola nsimbi
E Mawokota nasiibula
Ne mbasuubiza
Batege Radio ssaako ne Terefayina
Nkakasizza omwana agenda
Agendera ddala
Onkuumiranga omwana ono
Mu bonna yaŋambye asinga
Osinga abalala
Onkuumira ku mwana ono
Abataka eno essanyu linzita
Ono omwana kyankola
Wulira evvumbe
Ayayaya
Z’ezo embuutu zempita keetalo
Eno eŋŋoma ffe y’etugatta munnange
Ow’eŋŋoma

Munnange mwana wange ogenda mu bufumbo
Teri akukase gwe atuyise tukakase zino ensonga
Era n’otugamba y’asinga
Okuumanga ekigambo ekyo ky’ekikola buli nsonga
N’okusoma kwo ssi kivve
Kifuuka kivve bwe kikulembera obufumbo
Eheh! omwana w’omuwejjere
Ky’onkoze ndikinyumizaako ne Namalere
(Jajjange Namalere)
Koona nyeenye ku masejjere
(Namalere)
Lino essanyu nkakasa lituuse ne Masengere
(Masengere Masengere)
Manya obufumbo kirabo
Wulira ka nnyabo
Yagala munno z’ezo engalo
Naawe ssebo
Laavu ssi ntalo
Lwe musanyuka era ng’eŋŋoma elaya
Koona ku Namunjoloba

Eno eŋŋoma enzijukiza ssebo
Buli lwe yavuganga ng’akuyita alinawo ky’agamba
Baana bange mussa nga kimu
Oli bw’akunyiiza waakiri gwe koona ku ŋŋoma eŋŋanda
Buli lw’ozinamu bw’oti bw’oti
N’abadde n’obusungu tomanya gye buggweera
Eh! omwana w’omuwejjere
Ky’okoze ndikinyumizaako ne Namalere
(Jajjange Namalere)
Koona nyeenye ku masejjere (Namalere)
Lino essanyu nkakasa lituuse ne Masengere
(Masengere Masengere)
Ayayaya!
Omwana w’omuwejjere
Ky’okoze ndikinyumizaako ne Namalere
Koona nyeenye ku masejjere
Lino essanyu nkakasa lituuse ne Masengere
Gerald engalabi sigiwulira

Mukama akulemberanga
Mwana wange tewerabira ewammwe gy’ova
N’abaana b’olizaala
Eƞƞoma eno nabo ogibakubiranga
Mukama akulemberanga
Mwana wange tewerabiranga Omutanda
N’abaana b’olizaala
Eƞoma eno nabo ogibakubiranga
Awangaale

Agenda
Omwana agenda

(Visited 73 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

eleven + fifteen =

<