Akaseera – Pastor Wilson Bugembe (2011)

About
Album: Samson
Released: 2011
Artist: Wilson Bugembe
Genre: Hymns & Choral
Lyrics

Nafunyeeyo akaseera akajjukira gye nava
Ne nzijukira ebiro ebyo mwe nabeerera omunaku
Ebiro mwe nanoonyez ekikumi
Ebiro ebyo, bye saalina ayamba
Ne nzijukira omwami eyajja gyendi
N’aŋamba nsazeewo nfuuke omuzadde
Leero k’obeere omwana wange
Hmmm, nakaaba amaziga
Mazima n’akwata mu nsawo ye
N’aggyayo akatambaala akaali akeeru
Bwatyo n’asangula amaziga gange
Kati yafa naye taliva ku mutima gwange
Ali kitundutundu kinene olw’ekyo kyendi
Kyenvudde nzija, nkaabire eggwanga lyange
Naddala abooluganda mu Yesu
Bameka abaalifuuse kino kyendi leero?
Bali eyo, tebalina ayamba
Kale…

Ofunangayo akaseera n’okyalira abanaku
Ofunangayo akalabo n’otonera enfunzi
Kati obanyooma naye tomanyi
Kye balifuuka enkya
Kuba nabo (nabo, nabo)
Mukama abamanyi
Ofunangayo akaseera n’okyalira abanaku
Ofunangayo akalabo n’otonera enfunzi
Kati obanyooma naye tomanyi
Kye balifuuka enkya
Kuba nabo (nabo, nabo)
Mukama abamanyi

Nafunyeeyo akaseera akajjukira gye nava
Ne nzijukira ebiro ebyo mwe nabeerera omunaku
Ebiro mwe nanoonyez ekikumi
Ebiro ebyo, bye saalina ayamba
Ne nzijukira omwami eyajja gyendi
N’aŋamba nsazeewo nfuuke omuzadde
Leero k’obeere omwana wange
Hmmm, nakaaba amaziga
Mazima n’akwata mu nsawo ye
N’aggyayo akatambaala akaali akeeru
Bwatyo n’asangula amaziga gange
Kati yafa naye taliva ku mutima gwange
Ali kitundutundu kinene olw’ekyo kyendi
Kyenvudde nzija, nkaabire eggwanga lyange
Naddala abooluganda mu Yesu
Bameka abaalifuuse kino kyendi leero?
Bali eyo, tebalina ayamba
Kale…

Ofunangayo akaseera n’okyalira abanaku
(Mwana wange n’obawaayo akalabo)
Ofunangayo akalabo n’otonera enfunzi
(Ne kayimba oluyimba olwo)
Kati obanyooma naye tomanyi (hmmm)
Kye balifuuka enkya (tomanyi)
Kuba nabo (nabo, nabo)
Mukama abamanyi
(Mazima n’osuula amawolu)
Ofunangayo akaseera n’okyalira abanaku
(Bwe gayinga n’ogula obubizzi)
Ofunangayo akalabo n’otonera enfunzi
(Mbu bugalyenga)
Kati obanyooma naye tomanyi (tomanyi)
Kye balifuuka enkya
Kuba nabo (nabo, nabo)
Mukama abamanyi
(Omwana wo tamanyi math)
Ofunangayo akaseera n’okyalira abanaku
(Ku luguudo eyo waliyo omugezi)
Ofunangayo akalabo n’otonera enfunzi
(kaweerere kamucoachingenga)
Kati obanyooma naye tomanyi
Kye balifuuka enkya (tomanyi)
Kuba nabo (nabo, nabo)
Mukama abamanyi

(Visited 23 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

four × four =

<