Komawo Eka – Pastor Wilson Bugembe (2007)

Lyrics

Kati komawo eka
Kitaawo akulindiridde
Ŋamba komawo eno
Mukama akulindiridde
Tewazaalibwa otyo
Wapaala otyo bwotyo
Tewali muyaaye
Eno ensi yakulimbalimba
Yatuma n’omwana
Kale era wagaanira ddala
Ebibi byo ebingi
Mukama abyerabidde, komawo

Gwe laba ba maama
Gye babeera mu kuzaala
Buuza maama wo eka
Bwe yali akuzaala
Abasawo mu ddwaliro
Baamukulisa omwana
Nti kulika omwana
Naye ozadde kabbi kimanye
Akaana ko kayaaye
Maama keegendereze
Wakyuka bukyusi
Gwe tewali muyaaye yadde
Watondebwa mu kifaananyi kye
Mukama akulinze, komawo

Kati komawo eka
Kitaawo akulindiridde
Ŋamba komawo eno
Mukama akulindiridde
Tewazaalibwa otyo
Wapaala otyo bwotyo
Tewali muyaaye
Eno ensi yakulimbalimba
Yatuma n’omwana
Kale era wagaanira ddala
Ebibi byo ebingi
Mukama abyerabidde, komawo

Olinga balloon
Gye bafuuwamu omukka bazannye
N’egenda mu bbanga
N’epaalira eyo
Nga nnyiniyo munyiivu
Balloon eremedde mu bbanga (eh eh!)
Bagiwa akaseera
Luba olwo n’ekomawo ku nsi
Kubanga banyiivu
Ne bagiggyamu yonna
Kale naawe bw’otyo (naawe bw’otyo)
Mukama yakuwa omukka osse
Bwe watuuka eno
Gwe n’olemera mu kibira olinga balloon
Luliba olwo n’oggwaamu wenna
Komawo eka
Mba gwe nkomawo mangu

Hmmm eeh eh eh
Sitaani akuteze amaggwa
Tayagala okomewo ewamme tayagala okyuke
Ayagala ofiire eyo mu kibi
By’ebyo by’owulira amawulire bye gawandiika
Pasita yakutte akaana
Ow’egindi yabbye ssente
Ono yaguze ekyuma
Omulala poliisi emunoonya
Gw’olwo n’osanyuka nga tokimanyi oyongera kubula
Ffe Yesu waffe
Takwatanga ku kaana
Katonda waffe ono
Poliisi temunoonya wabula y’aginoonya (kimanye)
Ayagala ekyuke yeenenye
Kati gwe weerabidde nti Ekkanisa ly’eddwaliro ly’abalwadde
Waliwo be tujjanjabe obubbi
Abalala tubajjanjaba bukaba
Abalwadde baffe
Abamu tebannawona
Muba mujjanjaba bukaba okuwulira yakutte akaana
Ate temuumugobe
Nnyini ddwaliro yagaana
Yakyatula lunye
Buli omu mumuleke
Ajje nga bw’ali
Ba malaaya mujje eka
Omulwadde ye yetaaga omusawo
Kati manya twali balwadde
Twali balwadde naffe twawona
Komawo, komawo, oh oh eka

Ne bw’oba n’abasajja abangi
Nga tomanyi mutuufu y’ani
Eh komawo eka
Oyo waragi gw’onywa
Embwa n’otuuka ogiyita eŋŋwa
Eh komawo eka
Obwenzi bwakkwata
We njogerera obwongo bwakyuka
Eh komawo eka
Bw’olaba embuzi ku luguudo
Obwongo bwo bugamba oyo mukazi y’ajja
Eh komawo eka
Ebintu byakyuka naye komawo eka
Obulamu butereere
Eh komawo eka
Komawo eka
Komawo eka,
 ooh oh
Komawo
Mukama akwetaaga
Ebibi byo
Byonna abyerabidde
Mukwano komawo
Ooh oh oh
Ebibi byo
Byonna abyerabidde
Mba gwe nkomawo eka

Komawo eka
Omusajja takyebakako wammwe
Teri agenda Mulago
Bamukube empiso ewonya obukaba
Jangu n’obwenzi bwo
Bunaawonera eno mu Kkanisa
Teri agenda mu ddwaliro
N’asaba bamujjanjabe obubbi
Jangu n’obubbi bwo
Empiso ezimuwonya ziri eno
Jangu ne slit zo
Ensonyi zinadda mpolampola
Jangu n’akajanja ko
Kanaawonera eno mu Kkanisa
Jangu n’amayembe go
Yesu anaakuwanya emmandwa
Jangu ne siriimu wo
Emiggo gye egyo gituwonya emmandwa
Jjira mu mini zo
Ensonyi zinadda mpolampola
Jangu n’obwenzi bwo
Mpolampola on’ofuna omutuufu
Jangu eka
Komawo eka

(Visited 13 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

two × one =

<